Numbers 29:12-38

Ebiweebwayo olw’Embaga ey’Ensiisira

12 a“Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu era temulukolerangako mirimu egya bulijjo. Munaakolanga embaga eri Mukama Katonda okumala ennaku musanvu. 13Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokebbwa ku muliro ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kya nte eza sseddume ento kkumi na ssatu, endiga ennume ento bbiri, abaana b’endiga abalume abaweza omwaka gumu ogw’obukulu kkumi na bana; nga byonna tebiriiko kamogo. 14 bEra munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eky’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni, nga bupima kilo ttaano ku buli emu ku nte ekkumi n’essatu, nga bupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu ku buli emu ku ndiga ento ebbiri ennume; 15ne ku baana b’endiga abalume ekkumi na bana, nga bupima kilo emu n’ekitundu ku buli emu. 16 cEra munaawangayo n’embuzi emu ennume olw’ekiweebwayo olw’ekibi, ng’okwo mugasseeko n’ebiweebwayo ebyokebwa ebya bulijjo n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako.

17 d“Ku lunaku olwokubiri munaateekateekanga ente eza sseddume ento kkumi na bbiri, n’endiga ennume ento bbiri n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abaweza omwaka gumu ogw’obukulu, nga byonna tebiriiko kamogo. 18 eKu nte eza sseddume, n’endiga ento ennume, n’abaana b’endiga abalume, munaateekateekanga ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako eby’ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 19 fMunaagattangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’emmere yaako ey’empeke, n’ebiweebwayo byako ebyokunywa.

20 g“Ku lunaku olwokusatu munaateekateekanga ente eza sseddume kkumi n’emu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu; nga byonna tebiriiko kamogo. 21 hKu nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo eby’emmere yaako ey’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ebigenderako, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 22Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.

23“Ku lunaku olwokuna munaategekanga ente eza sseddume kkumi, n’endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka gumu ogw’obukulu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 24Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga, munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 25Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.

26“Ku lunaku olwokutaano munaateekateekanga ente eza sseddume mwenda, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka ogumu nga byonna tebiriiko kamogo. 27Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 28Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.

29“Ku lunaku olw’omukaaga munaateekateekanga ente eza sseddume munaana, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 30Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 31Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke, n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.

32“Ku lunaku olw’omusanvu munaateekateekanga ente za sseddume musanvu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 33Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 34Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.

35 i“Ku lunaku olw’omunaana munaakubanga olukuŋŋaana, era temuukolenga mirimu gya bulijjo egy’okukakaalukana. 36 jMunaawangayo ekiweebwayo ekyokye omuva akaloosa akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kye kiweebwayo ekyokye eky’ente eya sseddume emu, n’endiga ennume ento emu, n’abaana b’endiga abalume musanvu ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 37Ku nte ne ku ndiga ento ennume ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 38Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.

Copyright information for LugEEEE